Musajja mukulu olukiiko lwawedde tategedde

By Musasi Wa

ONO omukulu otulo twamutuuzizza obufoofofo ng'anoonya we tunaamugendera obulungi.

2014 1largeimg209 jan 2014 130519647 350x210



ONO omukulu otulo twamutuuzizza obufoofofo ng'anoonya we tunaamugendera obulungi. Yabadde mu lukiiko olwabaddemu n'omubaka wa palamenti owa Bunya East mu disitulikiti y'e Mayuge, Buwaya Waira Kiwalabye Majegere.

Baabadde bateesa ku ngeri ey'okutumbula abalimi. Ebyembi, olwatuuse mu lukiiko, yazze mu kutema bisiki n'atandika n'okwekyusa ng'ali mu buliri.

Okuva olukiiko we lwatandise, bakira yeebase era abantu ne batandika okwebuuza gye yasuze kuba olukiiko lwagenze okuggwa nga ye ali mu bisisimuko.

Musajja mukulu olukiiko lwawedde tategedde