Ebyana ebyamyuka bisazeeko Cameroon Gitawo ne bimubuzaako embiibya

By Musasi wa Bukedde

EBYANA olwalengedde omugagga Cameroon Gitawo omu ku bavubuka b'e 'Sausi' ng'ayingira ne bisituka mu butebe.

Bukedde 350x210

EBYANA olwalengedde omugagga Cameroon Gitawo omu ku bavubuka b'e 'Sausi' ng'ayingira ne bisituka mu butebe. Byazze kimu ku kimu nga bimugwa mu kifuba n'okuleekaanira waggulu nti, 'mugagga waffe weebale kujja., tubadde tukulinze otuwe ku ssanyu'.

Gitawu ng'amannya ge amatuufu ye Chris Mbibo nnannyini mmotoko ez'omulembe eziriko nnamba puleti mu mannya ga Mbibo yabadde ne banne bwe bali mu kibiina kya 'The Money Team Africa' (TMT) okuli Meddie Ssentongo ne Fred Ssekyanja mu bbaala ya Guvnor ku kabaga ka Black & White ku Lwokuna.