Aba 'Rich gang' baabadde ku kasiki, mujje leero mulabe embaga ya TMT: Gitawo

“Bwe liba swaga oba kulya bulamu nkukakasa TMT y’esinga"

Meddie Ssentongo ne Cameroon Gitawo nga bajooga

“Kiggwa leero” kye kigambo ekiri ku mimwa gy’abadigize mu Kampala nga beesunga akabaga ka ‘Money & Gold’ akategekeddwa aba  ‘The Money Team Africa’  (TMT) ekimu ku bibiina by’abavubuka ebivuganya mu kulya obulamu n’okulaga ssente mu ggwanga.

Ekiro kya leero kigenda kutokota nga ssi kisaanikire mu Club Guvnor abayimbi abakulembeddwamu; Bebe Cool ne Jose Chameleone, Sheebah ne Ntale nga bakuba Bannakampala emiziki ku mukolo ogutegekeddwa aba TMT abakulembeddwamu; Cameroon Gitawu, Meddie Ssentongo, Fred Ssekya…. n’abalala mu Club Guvnor.

Aba TMT nga bajooga

Bukya Bannayuganda abakolera ebweru w’eggwanga bayingirawo mu Uganda okuwummulako n’okulya ennaku enkulu wabaddewo embiranye wakati w’ebibiina by’abavubuka ab’enjawulo nga buli kimu kigamba nti kye kisinga ssente n’okulya obulamu embeera ereseewo n’okuwakana mu badigize n’abawagizi baabwe nga buli omu agamba ekibiina ky’awagira kye kisinga.

Wiiki ewedde aba TMT baaganye okwetaba ku kabaga ka Rich Gang bwe bavuganya akaabadde ku Liquid Silk nga bagamba nti baabadde tebasobola kubeera ku mukolo gugenda kubaswaza kubanga baabadde bakitegeddeko nti Ssemwanga ne banne mu kibiina kino bye baasuubiza abadigize omuli okubawa ssente n’ebirala baali tebagenda kubituukiriza.

Gitawo ng'ali ne Nnaalongo Judith Heard

Omukolo gw'aba Rich Gang, Cameroon Gitawu aguyise kasiki, n'agamba nti embaga ya leero (Olwokusatu)era  abadigize tebateekeddwa kusubwa mukolo guno kubanga bagenda kulaga kye bayita ssente n’okulya obulamu ssaako okugaba ebirabo bafulule aba Rich Gang.

“Bwe liba swaga oba kulya bulamu nkukakasa TMT y’esinga. Nze ebigambo ebyange biteera kuba bitono nkolera ku bikolwa era oyo yenna ayagala okukakasa nti TMT y’esinga, kiggwa leero mu Club Guvnor kulya bulamu ng'abantu basanyuka ne basereebu baabwe, abayimbi Bebe Cool, Jose Chameleone, Sheebah, Irene Ntale n’abalala bonna gye bali”