Abaafa mwapapa!

By Musasi wa Bukedde

Emmanuel Lwasa endongo yamucamudde abadigize n’abayiwamu kkuleeti

Lwa2 350x210

 

ABAYIMBI Chris Wajjadi, Catherine Kusaasira, Omulangira Ssuuna ne Kayibanda wa Bukedde Fa Ma omwaka gwabasanze Kyabakuza mu Masaka nga babinuka n’abadigize. Baabadde mu bbinu eryatuumiddwa ‘Lwasa agabudde’ mu Lwasa Gardens e Kyabakuza.

Owoolugambo waffe atu­gambye nti abadigize baabaddeyo mu bungi ne bafuuwa ebbidde n’okulya omucomo nga bwe bazina buli kika ky’amazina n’okuleekaanira wag­gulu nti, ‘abaafa mwapapa’. Ssaawa 6:00 bwe zaa­koonye, nga bayingidde omwaka omupya, abantu baabadde nga enjuki enkubemu ejjinja. Baazinye, okunywa omwenge era balinga abali ku mpaka nga beekulisa 2015. N’omugagga nnannyini kifo,

Emmanuel Lwasa endongo yamucamudde abadigize n’abayiwamu kkuleeti nga ziizo ebbinu ne liddamu buto era abantu baasaze ddansi okukeesa obudde.

Abantu baawuliddwa nga bagamba nti olaba Mukama abayisa mu 2015, balina okulya ku ssente zaabwe n’okudigida.