‘Nze nnaafa siguze ku mmotoka mpya’

By Musasi wa Bukedde

‘Nze nnaafa siguze ku mmotoka mpya'

Moo2 350x210

FRED Ssebbaale yalaba bayimbi banne bakutudde ddiiru n’ekibiina kya NRM, n’afulumya oluyimba oluwaana Col. Kizza Besigye n’ekibiina kya FDC.

Era Ssebbaale y’omu ku baafuna ddiiru z’okuyimba ku bivvulu bya Besigye. Kati kirabika omusimbi gwazze ayoola mu kampeyini zino agaanyi okuguteeka ku mumwa n’asalawo okweyiwamu ekyuma.

Yeeguliddeyo mmotoka y’ekika kya Probox nnamba UAY 356H ng’agamba nti naye akooye okuvuga eggaali ezikozeeko nga bw’abuuza nti mmotoka empya baazikolera bayimbi ba Ragga ne bandi bokka? Yagambye nti kye kiseera n’aba Kadongo kamu beeyagaleko.