Polofeesa Bukenya akyalimu oluyingo

By Musasi wa Bukedde

Polofeesa Bukenya akyalimu oluyingo

Gg2 350x210

‘‘BANNANGE akawala tekatukutulira Polofeesa waffe. Nze ndowooza ebyo eby’okuzina ng’akkirira yandibivuddeko’. Omu ku bakyala eyabadde ku mukolo bwe yagambye banne.

Olwo Polof. Bukenya yabadde attunka n’omuyimbi Spice Diana. Bukenya yasoose n’agezaako okuzina ng’akkirira kyokka yasitamye busitami ng’akawala kamutwala paka ciini.

Diana yazzeemu okusoomooza Polofeesa bazine nga bakkirira kyokka ku luno yabigaanyi ng’anyeenyamu katono n’addayo waggulu. Baabadde Kakiri ku Lwomukaaga.

Newankubadde bino byamutuuseeko, abawagizi be baagambye nti omusajja waabwe akyalimu oluyingo era ali ffiiti.