Navio ayimbye mu Luganda ne bamuwa omukazi

By Musasi wa Bukedde

Navio ayimbye mu Luganda ne bamuwa omukazi

Na1 350x210

Danny Lubwama Kigozi abangi gwe bamanyi nga Navio n’akinku mu nnyimba za Hip Hop ez’Olungereza atongozza oluyimba lwe ‘Njogereza’ abadigize ne bamusaba obutaddamu kuyimba Lungereza kuba ali ku kituufu.

Okumusiima baamuwadde n’omuwala amwogereze mu Luganda nga bali ku siteegi ekintu kye yakoze obulungi ne bamumukwasa. Bino byabadde mu bbaala ya Amnesia ku Lwokuna ekiro, omuyimbi Navio gye yabadde atongoleza oluyimba luno.

 Nga tannayimba ku 8:30 mu ttumbi, Mith bwe bali mu kibiina kya Klear Kut ye yasose okusanyusa abadigize n’ayita Navio. Navio yasoose kuyimba nnyimba endala kyokka ng’abawagizi bamugamba nti tuyimbire ‘Njogereza’, era olwalusuddemu ebyana ne byekwata mu ppeya ppeya nga bwe binyeenya ku galiba enjole.

Olwalumaze abawagizi kwe kumutegeza nti “Navio kati oli ku kituufu” era sigala ng’oyimba mu Luganda kuba ako akayimba kagenze wala. Dj Nimrod eyabadde kalabaalaba w’omukolo yabuuzizza kye bagamba Navio nga tannayimba nnyimba ndala kwe mugamba nti baagala bamuwe omuwala amwogereze ku siteegi, bw’amumatiza amutwalire ddala.

 badigize nga bali mu mnesia Abadigize nga bali mu Amnesia.

 Bino baagenze okubimalayo nga waliyo omuwala eyeesowoddeyo dda, era Navio ne bamusaba abalage ky’alinawo mu kwogereza mu Luganda. Navio yatokose mwana muwala n’amukkiriza era n’amulagirira we yapaakinze mmotoka ye amusange beggyewo.

Navio yazze n’omuwala gwe yakwata naye vidiyo eno wabula bakira engeri gye beeyisaamu yalese abadigize baliko akabuuza. Omuwala ono yazzeeko ku siteegi nga Navio ayimba ne babeera mu mbeera etaategeerekese ekyalese abawagizi nga beebuuza oba Navio yakyusizzaamu ku maama w’abaana kuba ayagala nnyo abawala abeeru.