Bukya nziba, leero bantimpudde...!

By Musasi wa Bukedde

Baamukubye n’awulubala ne bamutema n’ejjambiya ku nnyindo era poliisi ye yamutaasizza.

Nkambwee 350x210

DAVID Nkambwe bukya ayiiyiza mu nsawo za banne, ku mulundi guno baamusomesezza essomo. Baamukubye n’awulubala ne bamutema n’ejjambiya ku nnyindo era poliisi ye yamutaasizza.

Nkambwe okumukwata yabadde anyagulula kasawo ka mukazi eyabadde akedde okugenda okukola e Kawempe mu Kiyindi Zooni.

Poliisi yatuuse mangu n’amuteeka ku kabangali yaayo bamutwale e Mulago. Ekyewuunyisa, baabadde bamutwale ne yeegayirira poliisi bamukomye mu kkubo nti ajja kwetuusaayo kasita bamuwonyezza amannyo g’empisi. Baamulese Wandegeya ne yeeyongerayo.