Abampita nsindikanjake luno olubuto lwammwe?

By Musasi wa Bukedde

KAZANNYIRIZI wa Amarula Family, Yokaana Mbuusi abangi gwe bamanyi nga Kapere ali mu keetalo. Muninkini we Lydia Nakandi asulirira kuzaala era ennaku zino ali mu kuyigga ssente z’okugula obugoye n’ez’eddwaaliro.

Kapere1 350x210

KAZANNYIRIZI wa Amarula Family, Yokaana Mbuusi abangi gwe bamanyi nga Kapere ali mu keetalo. Muninkini we Lydia Nakandi asulirira kuzaala era ennaku zino ali mu kuyigga ssente z’okugula obugoye n’ez’eddwaaliro.

Kapere eyasangiddwa mu muzigo gwe e Makindye ku Madirisa yategeezezza nti ennaku zino buli kasente kaafuna akateeka wala mukyala we aleme kubonaabona era buli ky’asaba ne bwe kaba kanyama ng’aleeta awatali kumubuuza bibuuzo nti ate awaka waliyo abagenyi.

Ekikulu kiri nti omwana ono mwesunze nnyo. Ono ye mukyala wange asoose era sisuubira kufuna mulala wadde nga nfunye ssente ennyingi.

 apere ngalaga ebintu bye bazze bagula Kapere ng’alaga ebintu bye bazze bagula.

 

Kapere yategeezezza nti mukyala we eddagala alinywera mu ddwaaliro lya Kisenyi Health Center nga bagenda bonna.

Mukama mwebaza kubanga answalizza abo bonna ababadde banjogerera ebigambo n’okunsekerera nti simalaako.

Lydia Nakandi abatuuze gwe bayita mugole eyalabise nga mukoowu yategeezezza nti olubuto luli mu myezi munaana.

Yagambye nti musanyufu kubanga omwami we Kapere amuwadde buli kye yeetaaga ate afaayo okulaba ng’omwana waabwe azaalibwa mu mbeera ennungi.