Desire Luzinda aseeseetudde emyaka ng’ajaguza amazaalibwe ge

By Martin Ndijjo

Oluvannyuma lw’emyaka ena ng’asibidde ku myaka 25, kyaddaaki omuyimbi Desire Luzinda eyakazibwaako erya ‘kitone’ aseeseetuse nga kati awezezza emyaka 26.

Jaguza1 350x210

Oluvannyuma lw’emyaka ena ng’asibidde ku myaka 25, kyaddaaki omuyimbi Desire Luzinda eyakazibwaako erya ‘kitone’ aseeseetuse nga kati awezezza emyaka 26.

Yasinzidde ku kabaga k’amazaalibwa ge kwe yalagidde ssente ku Lwomukaaga ekiro ku Riders Lounge ku Acacia Place e Kamwokya ng’okukeetabako wabadde olina kuba ng’oyambadde byeru n’ategeeza mikwano gye n’abamu ku bawagizi be abaabaddewo nti, “eky’emyaka temukibuuza naye mukimanye nti nkuze era mpezezza 26” olwo enduulu n’evuga abalala nga bwe bagamba nti, wabula Desire olimbye emyaka.

 mugagga wasa wakati ngali ne uzinda ku kabaga u kkono ye mwannyina wa wasa ose amanda Omugagga Lwasa (wakati) ng’ali ne Luzinda ku kabaga. Ku kkono ye mwannyina wa Lwasa, Rose Namanda.

Desire yasoose kwewuunyisa abaabadde bamulindiridde wabweru bwe yajjidde mu mmotoka ekika kya BMW X6 gy’atera okuvuga ennaku zino era waliwo abaawuliddwa nga beebuuza gy’agya ssente.

Eby’okunywa n’okulya byabadde bya bwereere okutuusa akabaga lwe kaawedde ku ssaawa 8:00 ekiro.

 fande itus iwanuka eyali bba wa atherine usasira ngali nebyana Afande Titus Kiwanuka (eyali bba wa Catherine Kusasira) ng’ali n’ebyana.

 

Nga tannasala keeki, yasoose kutambula nga bw’abuuza ku bagenyi be n’okwekubya nabo ebifaananyi.

Bwe yatuuse ku mugagga Emmanuel Lwasa owa Lwasa Events ono yamuwaanye (Lwasa) nti Desire y’omu ku bayimbi abamukubira emiziki egimusanyusa era y’ensonga lwaki avudde e Masaka okujja ku kabaga ke.

 uzinda ngafuluma emmotoka mwe yajjidde Luzinda ng’afuluma emmotoka mwe yajjidde.

 

Yamusuubizza okumuteekamu ssente okutumbula ekitone kye eky’okuyimba nga bw’ayamba abayimbi abalala.

Kino kyacamudde Desire n’amwebaza n’abantu abalala abazze.