Taata Sam mu kululunkanira ennyama afunyeemu enzirusi

By Musasi wa Bukedde

BAKAZANNYIRIZI abeeyita Taata Sam ne Maama Sam abazannya nga Taata Sam alya ku maama Sam emmere, babawadde emmotoka okubeebaza obuzannyo bwabwe.

Ta 350x210

Sipapa owa Sipapa Entertainment ye yabawadde okubasiima olw’obuzannyo n’ategeeza nti ye akikolera buli muntu gw’alabamu ekitone era bw’atyo bwe yakolera n’abayimbi be Trekaman, Buchaman, Serena Bata, DJ Black n’abalala b’azze awa emmotoka.

Sipapa eyasangiddwa e Katwe, yategeezezza nti ye abeera tayagala kweraga wabula okuyamba abakola obulungi nga bakyali balamu.

Desire Kakande (ku ddyo) eyagibakwasizza ku lwa Sipapa yabasabye ereme kubatabula ate nga yaabwe bombi.