Diamond bba wa Zari akkiriza okuzaala ebweru

By Musa Ssemwanga

Kyadaaki omuyimbi okuva e Tanzania Naseeb Abdul Juma amannyiddwa nga Diamond Platinumz akkirizza okuzaala omwana ebbali kwossa n'okuganza Hamis Mabeto.

Zari1111 350x210

Bya Musa Ssemwanga

 

Kyadaaki omuyimbi okuva e Tanzania Naseeb Abdul Juma amannyiddwa nga Diamond Platinumz akkirizza okuzaala omwana ebbali kwossa n'okuganza Hamis Mabeto.

 

Ono y'omuwala eyalabikira mu vidiyo y'oluyimba lwe olwa 'Salome' era ng'ebigambo bizze biyitinganna nti ababiri bali mukwano.

 

Omuwala y'omu azze awanyisigannya ebisongovu ne Zari nga buli omu yeesoma kwossa n'okukakasa ekifo mu mutima gw'omuyimbi ono.

 

Enkya ya leero ng'ayita ku leediyo ya Cloud Fm eye Tanzania, Diamond avuddeyo nayogera ku nkolaganaye n'omuwala ono.