Gundi kkakkana tonnyigira omwana!

By Musasi wa Bukedde

OMUVUBUKA yeezinze ku muyimbi Mary Bata n’amuggyamu omwasi. Bino byabadde ku Tavern Woods e Kabuusu, Mary Bata gye yakubidde abadigize omuziki.

Buto1 350x210

Mary Bata bwe yalinnye ku siteegi, omuvubuka ono n’amusalako n’atandika okumunyinga omunyigo.

Mary Bata yasoose n’akigumira naye gye byaggweredde nga yeekyaye kwe kugamba omulenzi nti, “gundi, kkakkana ojja kunzitira omwana” era wano omuvubuka we yasalidde puleesa n’addayo gye yabadde atudde.

Bino byonna okubyogera ng’abadigize bakanya lwali nti oyo omuvubuka mugobe ajja kusobya omwana w’omusajja. Anti abantu!