Enkiiko z’okwanjula kwa Kusasira ne Sserugga zituuse ku ntikko

By Musasi wa Bukedde

Enkiiko z’okwanjula kwa Kusasira ne Sserugga zituuse ku ntikko

Tip2 350x210

EMIKOLO gya Catherine Kusasira ng’ayanjula Fred Sserugga gituuse ku ntikko olukiiko olwasembyeyo bwe lwatudde ne basonda 19,600,000/- za buliwo.

Olukiiko luno olwabadde olw’ebbugumu ku Hotel Africana, lwabaddemu abantu bangi era Kusasira yabeebazizza n’abagamba nti agenda kufumba pakalasiti. Okwanjula kwa kubeerawo ku Lwokutaano olujja e Luweero mu maka ga jjajja wa Kusasira.

Mu lukiiko luno n’omusajja eyeeyise Swaibu Walubo yazze ng’agamba nti ye yali agenda okuwasa Maureen Nantume wabula n’amuyiwa era Kusasira ye yamugumya kye yavudde yamuwadde amafuta liita 100, ssente 500,000/- n’ebirabo ebirala.

Waabaddeyo abayimbi nga Lyto Boss, Maureen Nantume, Julie Angume, Stecia Mayanja n’abalala.