Eyakutte omukazi ku bisambi bamutanzizza

By Musasi wa Bukedde

OMUVUBUKA eyalinnye takisi n’atuula n’omuwala ayambadde akagoye akampi n’akemebwa n’amukwatirira ebisambi agudde ku kyokya.

Batabata 350x210

Omuwala ono takisi yagirinnyidde Lubowa ng’edda Kampala.

Yatudde mabega gye yasanze omuvubuka n’atandika okumwekukuutirizaako n’ekyaddiridde kwefuula abongoota ng’eno bwasuula emikono ku bisambi by’omuwala engeri gye yabadde ayambadde akogoye akampi.

Mukaziwattu yasirise kyokka olwatuuse mu paaka n’amutabukira ng’agamba nti obwedda amukwatirira ng’anoonya essanyu kye kiseera okusasula.

Yabadde yeebuzaabuza n’amusika empale nga bw’aleekaana era omuvubuka olw’okutya okuswala yatudde ne bakkaanya okukkakkana ng’omuwala amukuddemu 20,000/-. Takisi yasimbye kumpi n’awabeera takisi z’e Ntebe.