Bano emigaati balya damegi?

By Musasi wa Bukedde

OBA bwavu oba kwagala bya layisi? Nze naawe. Abatuuze b’e Namuwongo donati n’emigaati emiramba kirabika gibawunyira zziizi nga baasigala kweriira damegi.

Mala 350x210

Owoolugambo waffe atugambye nti mu kitundu kino, bizinensi y’emigaati gya damegi y’esinga okukola anti egisinga gibeera gikunkumuse ng’oyinza okubuyita obuwunga ng’ate n’egimu gibeera gikukudde.

Bbeeyi y’ebyokulya bino n’ow’e 100/- bakupimirako ate alina 800/- ovaawo na loofu nnamba era kizibu okunywa caayi ataliiko kiriirwako.

Kyokka waliwo atugambye nti nga bizinensi zonna bwe zitera okubeera, n’ab’emigaati babeera na damegi nga bano gwe basuubulayo ne bamuguza abantu.