Mutabani w’omubaka anywa biki ebimukanula?

By Musasi wa Bukedde

BW’ATUUKA mu kifo w’agenda okukubira omuziki abeera musirise nnyo nga ne bw’omulinnyako yaakwetondera nti ...maama oba taata nsonyiwa.

Kuba 350x210

Kyokka MC bw’alangirira nti mutabani wa honalebo y’addako n’atandika okuwaga era agenda okulinnya ku siteegi ng’olowooza ava kudduka kikumi.

Atandika okudoodooma manya okuyimba ng’eno bw’akuba emiranga, okufunya ffeesi, okukanula amaaso nga n’oluusi amaziga gamuyitamu era abadigize abamumanyi olwo baba bafa nseko kyokka ng’abamulabye omulundi ogusooka balowooza nti ebizibu bimusinzizza amaanyi n’oluusi ebyewaabwe okumukanula.

Omuvubuka eyeeyita Zexy Yinki 10 Birangi Langi ayimbira mu Fire Base Crew ey’omubaka Bobi Wine era kye bava bamuyita mutabani wa Honalebo.

Kyokka newankubadde abadigize balowooza nti Zexy alinnya siteegi ng’alina by’akozesezza abamu kye bayita ‘‘Airtime’’ gw’atadde ku mutwe, ye agamba nti bino abikola kusanyusa badigize era talina kintu kyonna ky’anywa.

Batugambye entuuyo eziba zimuvaamu ng’ayimba ziyinza okujjuza ebbakuli.

BW’ATUUKA mu kifo
w’agenda okukubira omuziki
abeera musirise nnyo nga ne
bw’omulinnyako yaakwetondera
nti ...maama oba taata nsonyiwa.
Kyokka MC bw’alangirira
nti mutabani wa honalebo
y’addako n’atandika okuwaga
era agenda okulinnya ku siteegi
ng’olowooza ava kudduka kikumi.
Atandika okudoodooma
manya okuyimba ng’eno
bw’akuba emiranga, okufunya
ffeesi, okukanula amaaso nga
n’oluusi amaziga gamuyitamu
era abadigize abamumanyi
olwo baba bafa nseko kyokka
ng’abamulabye omulundi
ogusooka balowooza nti ebizibu
bimusinzizza amaanyi n’oluusi
ebyewaabwe okumukanula.
Omuvubuka eyeeyita Zexy Yinki
10 Birangi Langi ayimbira mu
Fire Base Crew ey’omubaka
Bobi Wine era kye bava bamuyita
mutabani wa Honalebo.
Kyokka newankubadde abadigize
balowooza nti Zexy alinnya
siteegi ng’alina by’akozesezza
abamu kye bayita ‘‘Airtime’’
gw’atadde ku mutwe, ye agamba
nti bino abikola kusanyusa
badigize era talina kintu kyonna
ky’anywa. Batugambye entuuyo
eziba zimuvaamu ng’ayimba
ziyinza okujjuza ebbakuli.