Laba amasappe...

By Musasi wa Bukedde

ABAGOLE Harry ne kabiite we Meghan bwe baavudde ku Kkanisa ya St. George’s Charpel nga bagenda okwewaamu n’abagenyi baabwe abalondemu ku Frogmore House, baatambulidde mu mmotoka ey’ebyewuunyo ey’ekika kya Jaguar E-Type Concept Zero embikkule.

Meghanmarkler 350x210

Harry ye yabadde avuga Meghan era obwedda buli we bayita nga babatenda amasappe.

Newankubadde ekyuma kino obwedda abantu bakirabanga ekipya, baakikola mu 1968 ng’era Jjajja waabwe, Kkwiini Elizabeth II ye yagibawadde batambuliremu.

Ekozesa masannyalaze era y’emu ku mmotoka za Kwiini wa Bungereza ezikuumibwa obutiribiri mu tterekero ery’ebintu ebikadde eby’omugaso ennyo olw’ebyafaayo byayo.

Abavubuka abamanyi okulya obulamu nga balina ke beekoledde baatandise dda okunoonya ekyuma kino nga bagamba nti kijja kubakolera nga balya kkaasi.