Nnankulu ke nkulabye sikyafudde!

By Musasi wa Bukedde

DAYIREKITA wa Kampala, Jennifer Musisi amanyi okufuluma ofiisi ye n’alambula emirimu egikolebwa KCCA n’abantu b’akulembera.

Bala 350x210

Gye buvuddeko yalambudde ebitundu ebiwerako omuli Mbuya, Kinnawattaka, Kamwokya, Bukoto ne Bugoloobi.

Bwe yatuuse e Kisaasi, yavudde mu mmotoka ye okubaako emirimu gye yeetegereza.

Yabadde akyayogera omukazi eyabadde yeesaze ekiteeteeyi ekya kiragala kyokka nga musanyufu ebitagambika kwe kuyingirawo.

Yawagaanyizza mu bantu n’amutuukako n’amubuuzaako. Kino tekyamumalidde n’amugwa mu kafuba kyokka nga Jennifer alinga atayagala kumusemberera nnyo ndowooza olw’ebyokwerinda.

Baatugambye nti omukyala ono yawuliddwa nga yeewaanira ku banne nti kaasisinkanye Jennifer takyafudde. Oba yabadde asuubira kumukolera ki? Nze naawe.

Omukyala ono yagambye Jennifer nti ye nnamwandu ng’alina bamulekwa n’abazzukulu b’alabirira kyokka abasajja ba KCCA bamutawaanya nga bamuggyako omusolo ku ssente z’afuna mu mayumba ge.