Empaka z’okunoonya ba DJ zizzeemu

By Musasi wa Bukedde

EMPAKA z’okunoonya bakafulu mu kutabula ekyuma zaakuddamu okubumbujja omwaka guno nga banoonya DJ omupya anaalya mu bannaabwe akendo.

Lamuza 350x210

Abawanguzi baakufuna sikaala mu ssomero ly’aba DJ.

Empaka zino ezaatuumibwa UGMixMaestro zaakuddamu okubumbujja mu 2018 nga kkampuni ya Uganda Waragi enoonya ba DJ mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo omuli Mbarara, Gulu, Arua, Mbale, Masaka nga kinnagweera Kampala mu zaakamalirizo.

Zaatongozeddwa omwezi oguwedde mu bbaala ya Gabz Louge e Bugolobi.

Akulira Uganda Waragi Agaba Tumusiime yalaalise ba DJ abalina ebitone mu kunyonyoogera ebyuma okwetegeka nga bukyali omukisa guno obutabayitako kuba baakubatuukako yonna gye bali bannamukisa era baakusasulirwa okwongera okubangulwa.