Mukulu, nze mbadde ng'amba....!

By Musasi wa Bukedde

“SSEBO mukadde wange Hon. Minisita Ssempijja nkusaba ompeeyo ku bukodyo bwe wakozesanga okuddukanya Masaka nga tannakutulwamu n’oganja", Ssentebe wa LCV e Masaka, Munnamateeka Jude Mbabaali bw’alabika okusaba minisita w’ebyobulimi, obulunzi n’obuvubi Vincent Bamulangaki Ssempijja (ku kkono).

Unity 350x210

Baasisinkanye mu kusaba okwabadde mu Lutikko e Kako mu Masaka, Ssentebe Mbabaali n'abaako akaama ke yakubye minisita Ssempijja.

Minisita Ssempijja yamuwadde akadde naye ng’alabika ebyamusabiddwa byamukutteko era olwamalirizza ne beesika mu mukono.