Muvubuka mpolampola tommennya!

By Musasi wa Bukedde

SSENTEBE ke tukuwadde akalulu kiwedde ababbi ogenda kubatukwatira.

Bbinu1 350x210

SSENTEBE ke tukuwadde akalulu kiwedde ababbi ogenda kubatukwatira. Baabadde
boogera ebyo ng’eno bwe basala ddansi, okufuuwa ebbidde n’okulya obulamu.
 
Ebbinu lino lyabadde mu Kiggundu zooni Makerere Kavule bwe baalaze omukwano eri Paul Kibuuka ssentebe waabwe gwe baalonze eyawangudde banne bataano.
 
Bwe yamaze okulangirirwa n’ategekera abalonzi akabaga akeetabiddwaako abavubuka
n’abakadde ne bakoona ddansi.
 
Endongo yawoomye olwo abavubuka ne bataayiza bamaama ne babanyiga omunyigo bo kye baayise okubawa ddoozi y’essanyu.
 
Kyokka abamu baawuliddwa nga balaajana babanyige mpolampola. Bino byabadde bigenda mu maaso nga Mary Namirembe, ssentebe abaddeko yeewuunya abantu
okumuvaamu ku ssaawa envannyuma kyokka n’abategeeza nti ssente za LC si zaabadde alyako.