Bba wa Nalwadda takyesobola oba ayoya kikomando?

By Musasi wa Bukedde

OMUYIMBI Betty Sserwadda gwe baakazaako erya ‘Muwala wa muzibe’’ oba omusajja we yamuvaamu? Twamuguddeko mu bitundu by’e Lugoba mu Kawempe ng’atudde okumpi n’ekibanda we basiikira chapati ng’akoona Rolex n’amata.

Funayo1 350x210

Twamuguddeko mu bitundu by’e Lugoba mu Kawempe ng’atudde okumpi n’ekibanda we basiikira chapati ng’akoona Rolex n’amata. 

Engeri gye yabadde alumamu Rolex ng’eraga omuntu omuyala ate abalala nti yandiba ng’omusajja yamukozeemu omulimu nga yavudde awaka ng’ayoya Chapati erimu eggi ate abalala nga beebuuza oba bba takyamufaako. 

Abantu b’e Kawempe baatuuse n’okwebuuza oba Betty alina okunoonyereza ku Rolex kw’aliko ng’ayagala kumanya engeri gyewoomamu alyoke akoleyo oluyimba olugiwaana anti ne minisita w’ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda Ssuubi yagitongoza gye buvuddeko. 

Owoolugambo waffe atugambye nti olwamaze okwesala Rolex ye n’atambula ne yeeyongerayo nga bw’awoza nti ‘‘era kale...’’.