Abayimbi okuva e Kampala bacamudde abadigize b'e Mbale

By Musasi wa Bukedde

Bano babadde mu kivvulu ekimanyiddwa nga 'purple Party' ekyabadde ku Thach gardens e Mbale.

Purple14 350x210

Bano babadde mu kivvulu ekimanyiddwa nga 'purple Party' ekyabadde ku Thach gardens e Mbale.

Ekivvulu kyatandise na bbugumu okuva mu bayimbi abato ab'ekitundu ekyo era bwe zaaweze esaawa 4 ez'ekiro, abava e Kampala ne batandika okubakuba omuziki.

Wasooseewo Nina Roz, Hanson Baliruno, Ykee Benda, Spice Diana, DJ Roja, Slick Stuart, Shiru , King Saha n'abalala.

Ykee Benda yacamudde abakyala era omu kwekuvaayo ne beekwata omunyigo olwo enduulu n'eraya.

Saha eyabadde ayambadde essaati eriko ekigambo 'Bobi Wine' ye yasembyeyo okuyimba era yakubye ennyimba ze zonna.

Okugeza nga Very Well, Biri Biri, On My way n'endala era olw'essanyu eringi yagudde mu bantu ne bamusitula ng'eno bw'alya mu ndago.