Umar Mwanje afunye maneja

By Musasi wa Bukedde

Loodi ono yaliko mu Revival Band eya Paasita Yiga n’addukayo.

Umar1 350x210

OMUYIMBI Umar Mwanje (ku ddyo) eyayimba ‘Omwana wa musajja ne Ttivvi y’omu ddiiro’’ bamuggye ku kaguwa. Afunye maneja omupya amuteekamu ssente n’okumuyambako okutambuza omuziki.
 
Owoolugambo waffe atugambye nti Omusumba Muyingo Moses Bright owa Gods Healing Tower e Nabweru Nansana (ku kkono) y’amukutte ku mukono era w’osomera bino
nga yamufunidde dda omuntu n’amuwandiikira oluyimba lwe baatuumye ‘‘Sweet Mula’’
n’okulukwata ku lutambi nga lwatandise n’okukubibwa ku leediyo ezimu.
 
Mu luyimba luno Mwanje abeera awaana mulamu we atera okubakyalira awaka.
Loodi ono yaliko mu Revival Band eya Paasita Yiga n’addukayo.
 
Yagambye nti Muyingo waamukwatidde ku mukono ng’ensi emukubye obuggo n’abutegeera anti nga tewali amuyamba kukola nnyimba kyokka okuva lwe yafunye maneja ono kati gy’agenda alabayo n’awera okulwana ng’omusajja okudda ku ntikko.