Ssente y'omubaka Kasibante eva wala!

By Musasi wa Bukedde

GWE ayagala okubba omubaka Moses Kasibante owa Lubaga North oyinza okusanga obuzibu.

Kola 350x210

Ssente ze azitereka wala ate bw’aba azisikayo aziggyayo n’obwegendereza ng’atya abamuliraanye okumulaba.

Kwe kugamba ayagala ssente ye. Alina omukolo gwe yabaddeko nga basonda ssente z’okutambuza emirimu gy’ekika kyokka ow’akabbo bwe yamutuuseeko, kyamutwalidde akabanga ng’aggyayo ssente.

Ekirungi n’eyabadde azisolooza yabadde mugumiikiriza nnyo.