Bannakatemba Ruth Kalibbala ne Sensuwa bagattibwa leero

By Musasi wa Bukedde

RUTH Kalibbala ne Charles Sensuwa Bwanika abazannyira mu kibiina kya Beyond Boarders ekya John Ssegawa ekizannya Akandolondoli, bagattibwa leero mu bufumbo obutukuvu.

Seka 350x210

Bano bamaze emyaka 15 mu laavu mwe bazaalidde abaana bataano. Baasooka kugattibwa wa ddiisi wabula Sensuwa yategeezezza Bukedde eggulo nti, bagenda kuddamu okugattibwa mu Klezia.

Okugattibwa okwasooka baakukola kubanga ekyo kye baali basobola, kati beesobola.

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya y’agenda okubagatta ku ssaawa 4:00 ez’oku makya ng’ayambibwako bafaaza abalala mu Lutikko e Lubaga.

Sensuwa era y’omu ku bakulu mu kitongole kya Gavumenti ekya UBC ate Ruth akola ne ku Dembe FM.

Sensuwa azaalibwa omugenzi Gerald Sensuwa e Gayaza ate Ruth azaalibwa David Kalibbala e Kawempe- Ttula.

Bagenda kusembeza abagenyi baabwe ku Silver Springs Hotel e Bugoloobi.