Bano amagumba baagabaggyamu?

By Musasi wa Bukedde

Bano amagumba baagabaggyamu?

Kab2 350x210

BANO baana balenzi atalina mutima mugumu talina kwetantala kubatunuulira nga bakola ebintu byabwe anti engeri gye banyoolamu emibiri tewali njawulo na lukoba lwa ggaali era omuntu ayinza okuwalirizibwa okubanyigako oba balina amagumba.

Fred ne Derick Walukaga abeegattira mu kibiina kya UASAPE baakoze obubadi “Acrobatics” katono bakuulemu abantu emitima.

Baabadde ku Lagrand Hotel e Bwaise mu kivvulu ky’okuyingira omwaka. Bakira bakola obubadi obw’enjawulo omwabadde okwezingirira ng’emisipi mu biwato n’ebirala era baagenze okuva ku siteegi ng’abalabi bagamba wewaawo