'Apass toli sayizi yange'

By Musasi wa Bukedde

OMUYIMBI Apass amaze ebbanga nga yeepikira omukozi wa ttivvi, Flavia Tumusiime era azze akyogera nti ye muwala amukolera.

Kibuuka 350x210

Wabula oluvannyuma lwa Tumusiime okuva ku mudaala, Andrew Kabuuru bwe yamuwasizza gye buvuddeko, kati Apass yasazeewo kubuukira Spice Diana.

Wiiki ewedde ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Facebook yawaanye Spice Diana nga bwali omuwala omulungi era amukolerera n’ayongerako mu Lungereza nti, ‘‘Spice olina okukimanya, I have a crush on you…).

Spice Diana oluwulidde bino n’atabuka n’amugamba nti, ‘‘ssebo Apass, toli mu tuluba ly’abasajja b’ekirooto kyange era sisobola kukuganza.

Ndowooza Apass yabadde asaaga kubanga mukwano gwange era y’omu ku bawagizi bange nga n’ennyimba zange zimunyumira’’.

Yagambye nti alina omusajja we era abaagala okumumanya bajja kumusanga ku Freedom City e Namasuba mu kivvulu kye yatuumye ‘‘Spice Diana Ndi mu laavu Live Concert’’.

Kiwagiddwa Vision Group efulumya ne Bukedde era okuyingira 10,000/- ne 20,000/-.