Sheebah ne Carol beewanye okulingiza mu maka g’abanene

By Musasi wa Bukedde

ABAYIMBI Carol Nantongo (ku ddyo) ne Sheebah Karungi (ku kkono) beewaanye nga bwe balina obukodyo obusomola ebyama by’abakungu n’okulingiza mu maka gaabwe.

Wan 350x210

Abayimbi bano baakuba oluyimba lwa ‘‘Sirwana’’ nga bakubiriza abakazi obutakola lutalo na baggya baabwe kubanga si be babakwana ate balina okukimanya nti laavu kazannyo buzannyo.

Nantongo yagambye nti bw’alaba ebigenda mu maaso mu maka ga Paasita Bugingo n’eyali omumyuka wa Pulezidenti, Polof. Gilbert Bukenya alabira ddala nga bye baayimba bwe bikwata ku bantu bano.

Balina bakyala baabwe ab’empeta kyokka balina ebyana bye baafuna okubawa essanyu be bagamba nti tebalina musango era abasajja ne balina okunenyezebwa olw’emivuyo gyabwe.