‘Mpolampola tondeka mu bbanga’

By Musasi wa Bukedde

‘Mpolampola tondeka mu bbanga’

Tip2 350x210

ONO Maama w’abaana okwagala okukekkereza, yatudde n’entwala ye ku bodaboda. Yasooseeyo kiveera ekyalabise ng’ekirimu emmere n’oluvannyuma naye n’abuukira bodaboda eyamututte kyokka ng’akabina kali mu bbanga ng’ate yeewaniridde ku by’akutte.

Obwedda owa bodaboda amuwabula bw’amukomekkereza nti ssebo ntwala mpolampola sigwa ekigo emabega ntudde ku kalebwerebwe oyinza okunsuula.

Baabadde mu bitundu bya Katwe Kinyolo kyokka n’abantu obwedda be bayitako nga bali mu kutya nti boda n’emala egwa mu kannya ayinza okugwa n’entalwa ye n’aviiramu awo. Oba yatuuse mirembe? Ekituufu nze naawe.