Kapere ensi emuwuubye n’addayo ku ssomero mu P4 ayige Olungereza

By Musasi wa Bukedde

ABAGAMBA nti obutasoma buluma okuze balabika baabiraba anti ne Munnakatemba Kapere ensi bw’emuweweenyudde nga n’ebisima ebimu bimuyitako lwa butasoma n’asalawo waakiri addeyo ayige Olungereza.

Dance1 350x210

Ono twamuguddeko ng’ali ku ssomero lya Makindye Citizens’ Pre and Primary School ng’ayambadde bulungi yunifoomu ng’akutte n’ebitabo ayingira ekibiina okusoma.

Kapere yagambye nti yazzeeyo okusoma era agenda kusoma P4. Agamba nti yasazeewo agende mu ssomero lino kuba liri kumpi ne wabeera.

Kapere agamba nti, ayagala kusinga kusoma Lungereza kubanga omulembe guno ogwa "Dot Com" nga gwetaaga omuntu amanyi ku Lungereza n’okumanya ku kompyuta.

Ku ssomero yaakasomerawo wiiki bbiri zokka.

Wabula abamanyi Kapere nga balina abaana baabwe mu ssomero lino naddala mu P4 bafunye okweraliikirira nti abaana baabwe batuuse obutasoma ng’ebirowoozo babimalira ku Kapere by’akola.

Omusomesa w’Olungereza agamba nti waliwo ebigambo ebikaluubirira Kapere okwogera ate ng’ebirala tamanyi w’abyogerera, okugeza “Because,”. tamanyi ddi lwe bakikozesa n’agamba nti bagenda kumuyamba okubikwata byonna ayigire ddala olulimi luno.