Bajjo akubye Lukwago akaama mu kkooti

By Musasi wa Bukedde

OMUTEGESI w’ebivvulu Ssaalongo Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo owa Bajjo Events ekkomera limunyize.

Funa1 350x210

Yazze mu kkooti nga yenna awotose ekyakanze abawagizi be ne mikwano gye abaakulembeddwaamu Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex (ku kkono).

Kyokka bano yabazizzaamu amaanyi bwe yagambye nti wadde embeera gy’alimu emunyiga naye alina essuubi nti buli kimu kijja kuggwa n’e Luzira aveeyo.

Bajjo ali ku misango ebiri okuli: ogw’okukuma omuliro mu bantu n’okwogera ebigambo ebigendereddwaamu okunyiiza omukulembeze w’eggwanga.

Ku Lwokutaano yaleeteddwa mu kkooti ya Buganda Road era ku mulundi guno yabadde asuubira okuyimbulwa ku kakalu ka kkooti nga bwe yasaba kyokka kyamubuuseeko omulamuzi Gladys Kamasanyu bwe yakamutemye nti mulamuzi munne Stella Amabirisi ali mu mitambo gy’omusongo gwe taliiwo n’alagira addizibweyo e Luzira okutuusa ku Lwokuna nga July 11, 2019.

Wadde nga munnamateeka we Loodi meeya, Ssaalongo Erias Lukwago yagezezzaako okunnyonnyola omulamuzi nti omuntu we (Bajjo) mulwadde alumizibwa nnyo mu lubuto ng’era yeetaaga okufuna obujjanjabi obwamangu nasaba ayimbulwe ku kakalu, Omulamuzi yamutegeezezza kimu nti ye akolera ku biragiro bye baamuwadde okwongezayo omusango guno.

Bajjo yakwatibwa nga June 15, 2019 okuva ku bbaala ya Mix Louge ku Centenary Park bwe baali mu lukung’aana lwa bannamawulire ne Abtex.