Omuziki gwa Sheebah gufuukuula Magogo!

By Musasi wa Bukedde

TWATEGEDDE wiiki ewedde nti Pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo ku bwagazi bw’alina eri omupiira, agattako okunyumirwa omuziki naddala ogwa Sheebah Karungi.

Funa 350x210

Abantu abaalabye Magogo ng’ali ku kabaga ka Sheebah ng’ayingira ennyumba ye e Munyonyo ng’eno abazannyi ba Cranes bali Misiri beekalakaasa, kyabakakasizza ng’omukulu ono bw’alina laavu y’omuziki gwa Sheebah.

Kyokka waliwo atugambye nti omukulu aliko emirimu gya FUFA egyabadde gimukomezzaawo kwe kuyitirako ewa Sheebah ng’omuwagizi.

Eno obwedda ali n’omuyimbi Laila Kayondo n’omuwala omulala gwe batugambye nti munywanyi wa Sheebah.

Bwe yamalirizza emirimu gye yabaddeko n’addayo e Misiri.