Sipapa atambula ne bulangiti mu bivvulu

By Musasi wa Bukedde

OMUGAGGA Sipapa naye nno taggwaayo. Bw’asimbula awaka ng’agenda okulya ssente abeera asimbudde.

Nsonga1 350x210

Ate engeri gy’alina emmotoka ennene apakiramu buli kimu.

Omukulu ono twamuguddeko gye buvuddeko mu kivvulu kya Roast & Rhymes ku Jahazi Pier e Munyonyo ng’ali ne mukyala we balya obulamu.

Empewo bwe yabayiseemu ne batumya bulangiti ne beebikkirira nga bwe banyumirwa ebigenda mu maaso.

Kyokka obwedda ababalaba beebuuza emikono gyabwe gye gyabadde gikutte.

Sipapa alina abakazi bana kyokka kirabika ono gwe twategeddeko erya Shamirah yawambye ate teyeemotyamotya.