Grace Khan odduka ki si ggwe wampise?

By Musasi wa Bukedde

Omuyimbi Grace Khan agudde ku kyokya. Bwe yalinnye ku siteegi n’ayita omuvubuka atemotyamotya ajje ku siteegi bayimbe bonna. Waliwo omuvubuka eyabadde yeewulira amazina ge nga ne sitamina agiweza eyayingiddewo.

Gracekhan7 350x210

Omuyimbi Grace Khan agudde ku kyokya. Bwe yalinnye ku siteegi n’ayita omuvubuka atemotyamotya ajje ku siteegi bayimbe bonna.

Waliwo omuvubuka eyabadde yeewulira amazina ge nga ne sitamina agiweza eyayingiddewo. Grace Khan yasuddemu oluyimba lw’omukwano omuvubuka n’amulagako.

Baasoose kuzina mazina ga weetiiye ng’omuwala yeekulukuunya akabina ke ku ffulaayi y’empale ya ggaayi enduulu n’evuga.

Ekyaddiridde kumukwata munyigo. Grace Khan eyabadde yeesaze akagoye akamutippye ebintu byasoose ne bimunyumira kyokka yagenze okuwulira nga ffulaayi y’omuvubuka etabuse ne yeesikamu.

Omuvubuka yayongedde okumunyweza nga bwamunyiga ku kabina n’okumukwata awabi n’atya n’ekyaddiridde kumwesikako n’adduka ku siteegi. Omuvubuka yamugoberedde nga bw’amugamba nti nnyabo komawo ggwe wampise. Baabadde ku  Lagrand Hotel e Bwaise ku Idd.

Grace Khan yawuliddwa ng’anyumiza banne nti omuvubuka yabadde ameze effumu mu mpale nga takyasobola kumugumiikiriza.