Balimwezo talina sitamina

By Musasi wa Bukedde

MEEYA w’e Nakawa, Ronald Balimwezo naye nno taggwaako bisesa. Abavubuka b’e Nakawa bwe baabadde bavuganya mu mpaka z’okuvuga obugaali maanyi ga kifuba, Balimwezo ye yasoose okukwatamu okulaga abantu nti naye lwa bitiibwa akagaali asobola okukasotta.

Balimwezoakagaalikabakubye 350x210

MEEYA w’e Nakawa, Ronald Balimwezo naye nno taggwaako bisesa.

Abavubuka b’e Nakawa bwe baabadde bavuganya mu mpaka z’okuvuga obugaali maanyi ga kifuba, Balimwezo ye yasoose okukwatamu okulaga abantu nti naye lwa bitiibwa akagaali asobola okukasotta.

Wabula yabadde y’akasimbula n’atagala okukakkana ng’ali ku ttaka. Abantu abaabaddewo baamusekeredde nga bwe bamukuba olwali nti ‘‘omukulu talina sitamina’’. Owoolugambo waffe atugambye nti bino okubaawo yabadde akola bukolomooni.