Omugagga Kalungi 'Billgates' akoledde mutabani we ow'omwaka akabaka ka bukadde!

By Musasi wa Bukedde

OMUGAGGA Moses Kalungi [Billgates amappaatiike] owa Kalungi Plaza ku Kampala road akoledde bbebi we, ow’omwaka ogumu akabaga k'amazaalibwa k'agamba nti kaamumazeeko obukadde 100!.

Mugaga3 350x210

OMUGAGGA Moses Kalungi [Billgates amappaatiike] owa Kalungi Plaza ku Kampala road akoledde bbebi we,  ow’omwaka ogumu akabaga k'amazaalibwa k'agamba nti kaamumazeeko  obukadde 100!.

Ono ye mwana omugagga Kalungi gwe yabbula mu mannya ge “Billgates Kalungi Junior” ng’omukolo guno gwabadde gwakwebaaza katonda okumuwa eddeezi eryeru era egoogofu nga ye.

Naggagga Kalungi yaliko meeya wa Makindye era muganda w’omugagga Godfrey Kirumira.  Mutabani we ono amuzaala mu mubaka omukyala akiikirira disitulikiti y'e Ntoroko mu Palamenti, Jennifer Mujungu.

Omwana ono kirabika agenda kutambulira ddala mu bigere bya kitaawe kubanga wa mukisa okuva obuto bwe kuba ku mazaalibwa ge gano kitaawe yamugulidde ekimotoka ky'abaana kye bayita ttooyi kya bukadde 5,  nga kitambulira ku limooti era n'akiteekako n’erinnya lya “Billgates” nga nnamba puleeti okufaananako emmotoka ya kitaawe gy’avuga ey’ekika kya “Lexus 570” nayo eriko amannya 'Billgates' ng'eno agamba yagigula obukadde 600!

Billgates Junior Kalungi yazaalibwa mu ggwanga lya Amerika mu ssaza lya Massachusetts e Boston.

Omukolo guno gwabaddewo ku nkomerero ya wiiki ewedde ku woteeri ya Golden Tulip Hotel  okumpi ne kkooti ya Twed Towers.

Kwetabiddwako n’omugagga Kirumira n’abaana baabwe era obwedda buli muntu atuukawo akkiriza nti ssente erina amaanyi yarabbi!!