Abawagizi ba Kenzo beesunga kumwaniriza

By Josephat Sseguya

ABAWAGIZI ba Eddy Kenzo ab'omunda, leero basiibye beetala nga beetegekera okumwaniriza.

Full1 350x210

Bya JOSEPHAT SSEGUYA

ABAWAGIZI ba Eddy Kenzo ab'omunda, leero basiibye beetala nga beetegekera okumwaniriza.

 ull igure nga yeekolako olwenkya lu musange ngateredde Full Figure nga yeekolako olw'enkya lu musange ng'ateredde.

 

Basiibye bakubisa mijoozi gimwaniriza okuwandiikiddwa ebigambo ’Welcome Eddy Kenzo, Uganda’s music export’ n’ebigambo ebirala ebimuwaana.

 keetalo akookwetegekera amadda ga enzo Akeetalo akookwetegekera amadda ga Kenzo.

 

Kenzo asuubirwa okutuuka enkya ku ssaawa 7.00 ku kisaawe e Ntebe. Wategekeddwaawo oluseregende lw’emmotoka olugenda okumutwala obutereevu e Makindye mu Kizungu w’agenda okukuba olukungana lwa bannamawulire annyonnyole watuse ku bya Sheikh Nuuhu Muzaata Batte eyamuvuma jjuuzi okubeera laavu nniga ssemyekozo eyalemwa okuwasa Rema Namakula n’amusuulawo.

 

Abategeka okumwaniriza bakulembeddwa Full Figure ne Maneja Roger Lubega owa Spice Diana ategese ‘convoy’ erimu mmotoka za BMW, Range Rover, Limousine n’endala.

Kenzo ali mu Amerika essaawa eno gy'abadde yagenda okuyimba.

 

Kenzo ategese kulumba Muzaata e Kibuli amubuulire akana n'akataano
Eddie Kenzo ne Rema beeraze amapenzi ku siteegi ne balumya abateesi