Paasita Siraje yebazizza Museveni okulowooza ku Butcherman

By Deo Ganyana

Paasita Siraje yebazizza Museveni okulowooza ku Butcherman

Yes2 350x210

OMUSUMBA Siraje Ssemanda asiimye Pulezidenti Museveni olw'okulonda musajja we Mark Bugembe amanyiddwa nga Butcherman. Pulezidenti Museveni ku lunaku lw'omukaaga yavaayo n'alangirira Butcherman nti amuwadde omulimu ogw'okubeera omuwabuzi we ow'ensonga za Ghetto.

Siraje nga ye maneja wa Butcher okumala kati emyaka ebiri agamba nti bagenda kulaba nga bayamba abavubuka bonna abali mu Ghetto za Uganda okubatusaako embeera ennungi nabo basobole okweyagala nga Bannayuganda abalala