Omuyimbi Nanjego tayeevuma kuyimba

By Musasi wa Bukedde

MWANA muwala Hellena Nanjego anaatera okwetuuma erya Hellena mazike kuba engeri gyategeeramu okukung'aanya amazike tamanyi Fresh Dad.

Tuula 350x210

Ono bw’omutunuulira ennaku zino takyakolagana na batalina mazike era kati yasazeewo kubeera mu bagagga nga bwe bamuyiira amazike olwo nga ye abalaga nga Katonda bwe yamuwa ekitone.

Nanjego yabadde wa Kisekka mu basuubuzi ba sipeeya ne bamakanika gye yakulungudde ennaku ng’abatalaagamu n’okubanyumiza ku lugendo lwe mu miziki.

Nga bwe bagamba nti omuntu alya ku kitone kye, bakira buli w’atuuka bamwaniriza na nduulu na buserefi ate ne bamusiibuza amazike.

Mu baasinze okwewuunyisa ye Nnaalongo owa Buddukiro Auto Spare ono yamusimbye amazike n’amugamba abaleko g’awulira nti gaayagala wamma Hellena n’akyekola.

Kyokka ono teyabaviiriddeko awo anti naye yabasabye bamwegatteko ng’ajaguza olugendo lwe mu kukuba omuziki lwe yatuumye The best of Hellena Nanjego. Bino byakubaawo enkya nga November 8, 2019 ku Theater Labonita.