Eyali Katikkiro Dan Muliika baamukuza

By Musasi wa Bukedde

KATIKKIRO wa Buganda eyawummula, Dan Muliika muntu wa kisa. Yalabye omukyala Joyce Mpanga ng'ono mukiise mu lukiiko lwa Buganda olukulu abonaabona n'ensawo kwe kusalawo amukwatireko era n’amukwata ne ku mukono okumutambuza.

Uni1 350x210

Abaamulabye ng’ayamba omukyala ono baawuliddwa nga bagamba nti Muliika alina ekisa ate abalala nti baamukuza bulungi naye ng’ekituufu kyo, yakuzibwa.

Baabadde mu Lubiri e Mmengo nga gye buvuddeko mu musomo ogwategekebwa Abataka abakulu b’ebika mu Buganda.