Mesach njagala mbaga

Sarah Nakkaayi mukyala w'omuyimbi Mesach Ssemakula (Golden Papa) ateze bba akamasu. Amusuddeko akabaga k'amazaalibwa ke yategese n'abamu ku mikwano gya Mesach Ssemakula kyokka bwe yabadde ayaogera n'ategeeza nti kati alinze mbaga akkakkane.

 Mesach ne Nakkaayi

Sarah Nakkaayi mukyala w'omuyimbi Mesach Ssemakula (Golden Papa) ateze bba akamasu. Amusuddeko akabaga k'amazaalibwa ke yategese n'abamu ku mikwano gya Mesach ku Papaz Spot e Makindye ku wiikendi.

Kalabaalaba w'omukolo, Meddie Nsereko bwe yawadde Nakkaayi omuzindaalo, yawaanye bba n'amusiima okumwagala ennyo nga bwe yeewaana nga ye bbebi asooka olwo abalala ne bagoberera bwe baba gyebali. Yakozesezza n'akakisa kano okutegeeza bba nti wadde amulaze omukwano n'okumukolera ebirungi bingi, naye ayagala kumukuba mbaga.

Bino yabadde tannaba kubimalayo abaabaddeyo nga bakulembeddwamu Meddie Nsereko ne batandika okwetema ssente z'embaga ng'eno abagenyi abalala bwe basaakaanya nti ....embaga ya ddi.

Meddie yeetemye obukadde 10, Musa Kavuma obukadde 15, Nsubuga Masanda doola 500 n'abalala. Kyokka Mesach wadde baamutadde ku nninga teyayogedde lunaku lwa mbaga lutuufu n'awoza nti 'Insha Allah'' ejja kubaawo omwaka 2020.