Recho Rey naye engoye zimusiiwa

By Musasi wa Bukedde

OMUYIMBI Recho Rey yeerabidde okwambala engoye n’agenda mu kivvulu ng’ali mu kawale, akaleega n’agoye akalinga akatimba ke yeesuliddeko olwo n’asibako omusipi.

Funa 350x210

 
Abamu ku badigize baamukubidde enduulu ng’abalala beewuunya omuwala ng’ono okugenda ku siteegi nga tayambadde.
 
Waliwo abaagambye nti ono kirabika yeegasse ku kabiina ka Sheebah Karungi akasiiyibwa engoye.
 
Ono atera okuyimba ng’ali mu bukete.