Fresh Kid akunze abato okweyiwa e Namboole mu kivvulu kya Toto

By Musasi wa Bukedde

Fresh Kid akyaddeko ku kitebe kya Vision Group n'akunga abazadde okuleeta abaana baabwe mu kivvulu kya Toto Christmas Festival ku Ssande eno e Namboole abakonkone endongo.

Freskid10 350x210

BYA PATRICK KIBIRANGO

Fresh Kid ayanirizidwa akulira Vision Group Robert Kabushenga gw'ayasanze mu ofiisi ye, n'amulambuza kampuni yonna  era n'ayogerera ne ku mpewo za Bukedde Fama Embuutikizi kw'ayitidde okukubiriza abato okweyiwa mu kivvulu kya Toto Christmas Festival ku Ssande eno.

Oluvanyuma batudde mu lukungaana lwa bannamawulire Fresh mw'ategeezezza nga bwasula yesunga ekivvulu kya Toto ekigenda okubeerawo ku Sunday eno nga December 8th kuba ayagala kukuliisaayo bato banne mu misomo mungeri ya sitayiro.

Kabushenga yakakasiza abantu nti nga bulijjo Vision group wetegekka tewaba kikyama era nasaba abazade okwewala okutwala abaana babwe mu bivvulu ebitabazimba wabula babaleete mu Toto bassanyuke ne banaabwe ate nga bwebafuna emikwano.

Grace Nampiima avunanyizibwa ku katabo ka Toto era ayakulidemu enteekateeka z’ekivvulu yategeezeza nti enteekateeka zonna ziwedde nga kati balinze kusanyusa bato .

Okuyingira kwa 10000/= era emiryango gyakuggulwawo ku ssaawa bbiri era   ku mulundi Abayimbi abato okuli Esther ne Ezekiel Mutesasira nabo baakubayo, wamu ne Paasita Wilson  Bugembe bakube abato omuziki.

Ekivvulu kino kitegekedwa Vision Group ne kiwagirwa Dstv ,Foodhub, Bank of Africa, Indomie, Britania Allied industries ne Splash.