Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo

By Musasi wa Bukedde

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Kasa 350x210

Yasangiddwa mu kivvulu kya Maro ekyabadde e Jinja gye buvuddeko ng’azina mazibu eno nga bw’azina akkirira ekyavuddeko abaabadde bamulaba okweraliikirira nti ebisa byandimusimbira awo.

Yazinye okuva lwe yayingidde eno nga banywanyi be be yayise nabo bwe bamugulira omwenge era yagenze okuvaawo ng’alabika amenye ekimala.

Yazinye okutuusa endongo lwe yaggaddewo bwatyo n’adda ewaabwe naye nga musanyufu. Oba yabadde alina kye yeekulisa? Nze naawe.