Lukwago yeeraliikiridde Beti Kamya

By Musasi wa Bukedde

LOODIMEEYA, Erias Lukwago agambye nti afunye okutya olwa Pulezidenti okulonda baminisita babiri aba Kampala ne yeebuuza ky’agenderedde okwawula minisitule eno n’agifuula eyeetongodde.

Kamya 350x210

LOODIMEEYA, Erias Lukwago agambye nti afunye okutya olwa Pulezidenti okulonda baminisita babiri aba Kampala ne yeebuuza ky’agenderedde okwawula minisitule eno n’agifuula eyeetongodde.

Wabula yagambye nti ekimusanyudde kwe kutongola minisitule ya Kampala n’eva mu ofi isi ya Pulezidenti.

Alowooza kigenda kuyamba okugiwa embalirira eyeetongodde n’okuwona abantu ababadde beekweka mu Pulezidenti Museveni ne bawa ebiragiro nga beekwasa nti bivudde wa Pulezidenti.

Yeewuunyizza okulondebwa kwa Olive Namisango Beti Kamya gw’agambye nti babadde batambula bonna ku ludda oluvuganya Gavumenti era ng’amumanyi ng’omukyala atekkiriranya mu by’ayogera.

“Sigenda kwerabira bwe yagamba nti yewuunya abakkiriza okukola ne Pulezidenti Museveni. ‘‘Omuntu akola ne banne endagaano n’azimenya, omuntu eyasuubiza Mmengo n’atatuukiriza okolagana otya naye era omwesiga otya?

Yagambye nti Betty Kamya ebigambo byonna by’azze ayogerera Pulezidenti Museveni ebikaawa ng’omususa ye agenda kumwesiga ntya okukolera awamu. “Nzijukira ku bimu ku birowoozo minisita Frank Tumwebaze bye yatwala mu Palamenti mwalimu ekigamba nti minisita y’agenda okukulira Kampala era yasaba obuwaayiro obwogera ku Loodimeeya nti y’akulira Kampala babuggyemu.

Ekyo ηηenda kukirondoola kubanga nze mukulembeze omulonde era nze nkulira Kampala,” Lukwago bwe yagambye. Yagambye nti Beti Kamya amwewuunya kubanga babadde bonna ku ludda oluvuganya Gavumenti era alina ebibuuzo bingi by’ateekwa okunnyonnyola ab’oludda oluvuganya Gavumenti.

‘‘Yatuuse atya okulabikira ku lukalala lwa baminisita. Pulezidenti gw’abadde ayogerera n’okulinnyirira bwatyo yatandise atya okumwesiga amulonde ku bwaminisita,’’ bwe yagambye.

Agamba nti ebimu ku bimweraliikiriza ku Beti Kamya, amujjukira mu mukago gw’ebibiina ogwa TDA nga tugenda mu kulonda yali ku mwanjo nnyo naye yakola nnyo okubalemesa okuguyingira.

Enkolagana yange ne ofi isi ye egenda kusinziira ku mirimu egimutumiddwa okukola. “ Ofi isi yange ya Bannakampala era ya bantu bonna, sisobola kugamba nti sigenda kukolagana naye wabula bw’aba alina entegeka ezinsaanyaawo era bw’aba aweereddwa emirimu okunafuya obukulembeze obulonde mu Kampala awo ηηenda kumwaηηanga.

Yalabudde nti Kampala alina ebizibu bonna bye bateekeddwa okukolera awamu babimalewo. Eggulo yatandise emirimu mu ofi isi n’okusoma ebiwandiiko era yasangiddwa ng’ategeka kutuuza lukiiko lwa bakansala batandike okukola.

Kyokka ensonda zigamba nti okutya kwa Lukwago okusinga kuva ku ngeri gye yaggyirayo Beti Kamya enjala mu kulonda okwakaggwa bwe yakubira Moses Kasibante kampeyini.

Kasibante yawangula Kamya ku ky’obubabaka bwa Lubaga North.

Beti Kamya amanyiddwa bw’ali omumalirivu era takkiriza kulinnyirirwa era kye kyamuggya ne mu FDC ng’agamba nti baali bamuboola.