UMEME eyodde ababbirira amasannyalaze e Kawempe

By GODFREY LUKANGA

ABATUUZE mu bifo by’enzigotta mu Kawempe basigadde mu kibubulu oluvannyuma lw’ebikwekweto ekitongole ky’amasannyalaze ekya UMEME bye kyakoze ku babbirira amasannyalaze.

Umeme1 350x210

ABATUUZE mu bifo by’enzigotta mu Kawempe basigadde mu kibubulu oluvannyuma lw’ebikwekweto ekitongole ky’amasannyalaze ekya UMEME bye kyakoze ku babbirira amasannyalaze.

Ebikwekweto ebikulembeddwaamu Christopher Muhwezi okuva ku ttabi ly’ekitongole e Wandegeya bitandikedde mu Busia zooni ne Kimwanyi zooni mu Katanga e Wandegeya, ne bazzaako Butakabukirwa, Kifumbira ne East Nsooba mu muluka gwa Bwaise 3 gye basanze ng’abaayo tebabbye masannyalaze woowe!

 bakozi ba  nga baggyayo waya zamasannyalaze abatuuze bomu atanga e andegeya ge babbirira ku wokutaano 230916 Abakozi ba UMEME nga baggyayo waya z'amasannyalaze abatuuze b'omu Katanga e Wandegeya ge babbirira ku Lwokutaano 23/09'16

Muhwezi agambye nti bagudde ku bantu ababbirira amasannyalaze butereevu okuva ku waya ez’amaanyi ezigatambuza ne bagasasaanya mu bannaabwe nga bagayisa mu ttaka ne ku mabaati, ekintu eky’obulabe ennyo eri abantu b’omu kitundu.

“Embeera gye tusanze mu bitundu gye tukoze ebikwekweto y’ennyamiza olw’abantu okwagala okukola ssente nga tebafuddeeyo ku bulamu bwa bannaabwe. Waya z’amasannyalaze tuzisanze ziyising’anya ne waya ze baanikako engoye, eky’obulabe ennyo nga n’endala ze bayisa mu ttaka ziri ku ngulu,” Muhwezi bwe yategeezezza.

 bakozi ba  nga baggyayo waya zamasannyalaze abatuuze bomu atanga e andegeya ge babbirira ku wokutaano 230916 Abakozi ba UMEME nga baggyayo waya z'amasannyalaze abatuuze b'omu Katanga e Wandegeya ge babbirira ku Lwokutaano 23/09'16

Muhwezi ayongeddeko nti bakutte n’abantu abakozesa amasannyalaze ga yaka abaakwata mu buuma mita nga bano bamaze ekiseera nga bagootera ku bwerere, n’agamba nti bagenda kutwalibwa mu mbuga z’amateeka bavunaanibwe.

Bakira abatuuze balaajanira aba UMEME obutabasalako masannyalaze nga bagamba nti bwe gavaako obumenyi bw’amateeka bugenda kweyongera.