Ssaabawolereza alagidde KCCA okusasula Kidandala

By Dickson Kulumba

SSAABAWOLEREZA wa Gavumenti, William Byaruhanga alagidde KCCA okusasula eyali omumyuka wa Loodi meeya, Sulaiman Kidandala ensimbi z’ekisanja ekiwedde.

Kidandala 350x210

SSAABAWOLEREZA wa Gavumenti, William Byaruhanga alagidde KCCA okusasula eyali omumyuka wa Loodi meeya, Sulaiman Kidandala ensimbi z’ekisanja ekiwedde.

Ssente ezigenda okumusasulwa zisoba mu bukadde 600 nga zaalina okumuweebwa okuva mu 2011 okutuuka ng’ekisanja kiweddeko.

Mu bbaluwa Byaruhanga gye yawandiise nga October 12, 2016 yalagidde KCCA, okukomya ekyokugaana okulondebwa kwa Kidandala n’alaga nti yalondebwa mu mateeka nga bayita mu mitendera emituufu n’olwekyo alina okuweebwa byonna ebigwa mu ofiisi ye okuli omusaala, obusiimo bw’emmotoka, enju n’obujjanjabi.

Kidandala yategeezezza, eggulo nti eky’obutakakasa buweereza bwe ng’eyali omumyuka wa Loodi meeya kibadde kimuyisa bubi n’okumufaanya obubi mu maaso g’abantu. Kidandala yagambye nti “ ekiragiro eri KCCA okukkiriza nti n’awereza mu kifo ekyo buwanguzi bunene gyendi kuba bagaana omuntu yenna okukolagana nange”.

Ku nsonga y’emu, eyali Ssaabawolereza, Peter Nyombi yawa amagezi ku nsonga eno ng’anyweza ebyasalibwawo Jennifer Musisi nga yakikola nga November 13,2013.

Kidandala kwe yeesigamye okugenda ewa Ssaabawolereza Byaruhanga n’amusaba atunule mu nsonga ze era n’awa okusalawo kwe nti asasulwe.