Ssekukkulu mu Kampala: Abasuubuzi beeraliikiridde olw’abaguzi abakyali abatono

By Joseph Makumbi

Aabasuubuzi batandise okufuna okutya nga bagamba nti abaguzi tebannataba bulungi nga n’abayitamu abamu bakola gwa kulamuza! Abamu bakitadde ku mbeera ya byanfuna eteri nnungi nga kati abantu ensimbi baziteeka ku bintu ebitalekeka ng’emmere.

Mpala1 350x210

ABANTU batandise okweyiwa mu Kampala okwegulira ebya Ssekukkulu n’Olusooka omwaka. Ekimu ku bisoose okwoleka embeera eno kwe kusibagana kwa mmotoka okweyongedde mu Kampala nga kati tekukyaliko ssaawa.

Mu mbeera eza bulijjo okusibagana kwa mmotoka kusinga mu biseera bya ku makya ng’abantu bajja ku mirimu n’akawungeezi nga bannyuka.

Wabula abasuubuzi batandise okufuna okutya nga bagamba nti abaguzi tebannataba bulungi nga n’abayitamu abamu bakola gwa kulamuza! Abamu bakitadde ku mbeera ya byanfuna eteri nnungi nga kati abantu ensimbi baziteeka ku bintu ebitalekeka ng’emmere.

Zaagendanga okuwera ennaku z’omwezi 15 December ng’abasuubuzi mu Kampala batandise okuwunyiriza ku lusu lwa ssente era nga n’emmaali boongera okuyiwa.

Abasuubula ebweru w’eggwanga nga nabo beetala kusasula misolo kuyingiza bye bagenda kutunda wabula ey’omwaka guno ekyabatakuza emitwe.

Ku Mmande embeera yabadde ekyafaananira ddala eya bulijjo, abantu abagula nga bamuswaba.

Abagenda mu byalo nabo baabadde bakyali batono bw’ogeraageranya ku myaka egiyise kyokka abasaabaza abantu naddala mmotoka ezigenda mu ng’endo empanvu, ebisale baabirinyisizza wadde abantu baabadde bakyali batono.

Baddereeva ba bbaasi ne takisi bagamba nti okusoomooza kwe bayitamu be basaabaze abatajja mu kibuga ng’emmotoka zigenda zijjudde kyokka mu kudda kumpi bavuga nkalu so nga bassiddwaako obukwakkulizo ku mirundi gye balina okukola olunaku olw’okwewala obubenje.

 nguudo ezimu waliwo abayiwako engatto nengoye okutunda ulisimaasi Enguudo ezimu waliwo abayiwako engatto n’engoye okutunda Kulisimaasi.

 

ABASUUBUZI BAKAABA

Joseph Wasswa omusuubuzi w’omu Kikuubo yagambye nti emirimu gikalubye kubanga baggulawo ne basiiba nga batudde nga tebalaba baguzi. “Edda twakolanga ssente naye kati abantu bajja batuyitako buyisi.

Embeera y’ebyenfuna mbi mu ggwanga, abantu nabo tebalina ssente zigula bintu,” Wasswa bwe yagambye.

Yagambye nti nabo bandyagadde okugendako mu byalo olunaku balulye n’abantu baabwe naye embeera ekyakalubye.

“Entambula ya buseere okugenda mu kyalo. Kati aweerezza ssente abantu bo mu kyalo ku ssimu osinga mu kifo ky’okuzookera mu ntambula,’’ Wasswa bwe yagambye.

ABATEMBEEYI BATANDISE OKUDDA KU NGUUDO

We bwazibidde ku Mmande, ng’abatembeeyi abatunda naddala engoye n’engatto eby’abakazi batandise okukomawo ku nguudo okuli Mukwano Road, Ben Kiwanuka, Qualicell n’ebitundu ebirala kyokka nga batunda balabiriza.

Binaddamu Mumbere, omutembeeyi mu Kampala yagambye nti osanga ssente bandibadde basobola okukola entonotono mu kiseera kino naye KCCA tebaganya wadde nnaku nkulu, basigadde babayoola.

Bano baategeezezza nti essaawa eno bwebaba tebatunze, olunaku balina lumu kwe basobola okweyagalira olwa Ssekukkulu ate ng’abantu tebajja kubeera mu kibuga.

 u keetalo ka sekukkulu abantu beeyiye ku dduuka lya  ude olour olutions ku kizimbe kya rime omplex ku ilson oad okwegulira ku birabo byokuweereza abantu baabwe ku sekukkulu nokumalako omwaka alina ebintu ngebikopo ebiriko ebifaananyi namannya gabantu essaawa emijoozi nebintu ebirala bingi Mu keetalo ka Ssekukkulu, abantu beeyiye ku dduuka lya Jude Colour Solutions ku kizimbe kya Prime Complex ku Wilson Road okwegulira ku birabo by’okuweereza abantu baabwe ku Ssekukkulu n’okumalako omwaka. Balina ebintu ng’ebikopo ebiriko ebifaananyi n’amannya g’abantu, essaawa, emijoozi n’ebintu ebirala bingi.

 

 

KCCA EBAGAANYI KU NGUUDO

Omwogezi wa KCCA, Peter Kaujju yategeezezza nti tebalina mutembeeyi gwe bagenda kukkiriza ku nguudo yadde ku Ssekukkulu.

“Abatembeeyi tulina ebifo bye twabateerawo tuggala ekkubo ddamba buli lwa Ssande ku luguudo lwa Luwum.

Twateekawo obutale ne tubateerawo n’ebifo ebirala eby’enjawulo nga gye twakava e Lugogo mu Jua Kali.” Kaujju bwe yagambye.

Yagambye nti abantu ababa baagala okutundira ebintu byabwe awantu bawandiikira KCCA ebbaluwa nga basaba ne babawa ennaku ze balina okumala nga batunda n’agamba nti kati waliwo abali ku kibangirizi ky’eggaali y’omukka we batundira.

“Eby’okwerinda biri gguluggulu era tetukola ffekka nga KCCA tukwataganira wamu ne poliisi, ebitongole by’ebyokwerinda byonna mu ggwanga okulaba nga mu kibuga temuli kavuyo,” Kaujju bwe yategeezezza.

Poliisi efungizza

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Andrew Felix Kaweesi yategeezezza nti buvunaanyizibwa bwa poliisi okukuuma Munnayuganda n’ebintu bye n’agamba nti ebyokwerinda babinywezezza okuyita mu ggandaalo lya Ssekukkulu.

 mukyala agenda mu kyalo ngasitudde omwana nembaata Omukyala agenda mu kyalo ng’asitudde omwana n’embaata.

 

Yagambye nti ababbi n’abamenyi b’amateeka bangi wabula boongeddemu amaanyi okubalwanyisa abantu basobole okulya Ssekukkulu mu mirembe n’asaba Bannayuganda bakolagane bulungi n’ebitongole bya gavumenti ebikuumaddembe. Yalabudde ne Dr. Kiiza Besigye ku nkung’aana ezimenya amateeka.

Ate baddereeva baalabuddwa nti bateekeddwa okubeera n’ebisaanyizo bwe baba baagala okuvuga mmotoka ate bavuge nga tebatamidde.

Okusala ensa wo:

Mu Kampala bwe mubaamu akanyigo n’abasazi b’ensawo n’abamenyi b’amateeka abalala bakozesa embeera eno okunyaga abatambuze.

Abamu babeekukuutirizaako ne babasala ensawo oba okubakwata mu nsawo ne babanyagako ssente, ebiwandiiko n’ebirala.

Mulimu n’ababuzaabuza abantu abazze okugula ebintu mu Kampala nga babagamba nga bwe basobola okubafunira ebintu bye baba banoonya ku bbeeyi layisi.

Bano babaggyako ssente ne babaleka n’abantu be bagamba nti bakolagana nabo olwo ne bayitira eyo ne babulawo n’otaddamu kubalabako.

 baguzi boongedde okweyiwa mu maduuka okugula ebya sekukkulu baguzi boongedde okweyiwa mu maduuka okugula ebya Ssekukkulu.

 

AB’OBUTALE BALI MU KEETALO

Ssentebe w’olukiiko olufuzi mu katale ka Owino, Badru Kavulu yagambye nti, mu katale ka Owino, abaguzi yo beeyongeddeko.

“Abantu kati bangi mu Owino ng’ekizibu kye tulina kya makubo gaffe amabi ate nga mafunda ng’abantu abamu batya okujjayo naye kaweefube gwe tuliko wa kugatereeza n’okukola ku nsonga y’abasazi b’ensawo abakozesa akakisa kano okunyaga abantu,” Kavulu bwe yagambye.

“Yagambye nti boongedde ku ssaawa ze bakoleramu nga baggulawo ssaawa 12.00 ku makya ate ne baggalawo ku ssaawa 2:00.

Ate Samuel Muyomba Basajjabafiirawala, omwogezi wa Kikuubo Business Community olukiiko olukulembera Kikuubo yagambye nti, embeera nabo bagiraba mbi naddala eri abasuubuzi baabwe.

“Tuggalawo ku ssaawa 3:00 ez’ekiro naye omulyango omunene gubeera muggule eri abayingira okutikkula emmaali yaabwe, abantu tetugenda kubakaka kuggala maduuka gaabwe basobole okukola ne kw’abo abannyuka akikeerezi,” Muyomba bwe yagambye.